Amawulire

URA ewangudde Coffe United 2-1

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Lukeman Mutesasira

URA FC bawnagudde Coffe United FC, eye Ethiopia 2-1 mu mpaka za CAF Confederations Cup.

Guno gwemupiira ogusoose, nga gubadde ku kisaawe kya St Mary’s e Kitende.

Steven Mukwala yategedde URA goolo zombi atenga William Solomon yeyatebedde abagenyi gooli gyebafunye mu mupiira guno.

Omupiira ogwokuddingana gwakuberawo wiiki ejja nga 18 Sebutemba 2021 ku kisaawe kya Bahir Dar International Stadium mu Ethiopia.

Anawangula wakati wa club zino waakuzannya El Massary eye Misiri.