Amawulire
Kooti egobye okusaba kwa Kashaka okuleeta obujulizi obulala
Bya Ruth Anderah
Kooti ensukulumu egobye okusaba kweyali omuwandiisi owenkalakkalira, mu minisitule ya gavumenti ezebitundu John Muhanguzi Kashaka mwabadde ayagalira bamukirize okuleeta obujulizi.
Mu musango guno Kashaka awakanya ennamula ya kooti eza wansi ezamusingisa omusango gwobulyake nobukenuzi.
Kooti eowzesa abalyake yamusiba emyaka 10 nebamuwera nobutawereeza mu gavumenti era emyaka 10, olwokubulankanya ssente obuwumbi 4 nobukadde 200 ssente ezaali ezokugulira ba ssentebbe bebyalo obugaali.
Abalamuzi ba kooti ensukulumu nga bakulembeddwamu Ssabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, bagobye okusaba kwa Kashaka ngensonga zebawadde nti obujulizi bwayagala okuleeta bukadde obwava mu kooti ejjulirwamu.
Bagambye nti bandimuwadde omukisa ssinga abadde aleeta bujulizi buppya.
Mu mwaka gwa 2014, Kashaka nabalala 3 abaali abakungu mu minisitule ya gavumenti ezebitundu, omulamuzi Catherine Bamugemerire yabasingisa omusango olwokufiriiza gavumenti.
Bano baawa kampuni eyekikwangala omulimu, okuguza gavumenti obugaali emitwalo 7 obwalina okuweebwa ba ssentebbe bebyalo mu mwaka gwa 2011.