Amawulire
Nantaba awangudde emisango 3 egyamugulwako
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti enkulu e Mukono agobye omusango ogwokusattu, egyali gyaggulwa ku mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kayunga Aidah Nantaba.
Omulamuzi Olive Kazarwe Mukwaya alagidde eyawaaba Harriet Nakawunde okusasula ebisale eri Nantaba byasasanyizza mu musango guno.
Nakawunde yawawabira Nantaba ngamulumiriza okumenya amateeka gebyokulonda, era abadde alumiriza nti waliwo bus 17 ezaali zikubyeko abantu, abaletebwa mu kitundu wabulanga tebamanyiddwa.
Ebirala, abadde agamba nti yagulirira abalonzi nebirala.
Omulamuzi Olive Kazaarwe Mukwaya agobye omusango guno nagamba nti eyawaaba yalemereddwa okuleeta obujulizi pobumatiza.
Agambye nti Nantaba talina maateeka gabyakulonda gonna geyamenya.
Abantu 3 bebaali baggula ku Nantaba emisangi okuli ne kansala e Kayunga, nga bawakanya okulondebwa ku nsonga zobuyigirize, okubba akalaulu nokugugulirira abalonzi, wabula gyonna kooti yagigobye.