Amawulire
Uganda tetambudde bulungi mu myaka 59 egyobwetwaze
Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe
Abatunuliira ensonga bategezezza ngemyaka gya Uganda 59, egyobwetwaze bwejibadde gimalamu amaanyi.
Ambassador Harold Acemah agambye nti Uganda bweyafuna obwetwaze baali basubidde bingi naye bitono ebitukiddwako.
Acemah agambye nti egwanga lyawaba, okuva ku mulamwa era litambula litagala eno neeri.
Ono awakanya ekyokuba nti gavumenti efuga, eteeka ssente 40 % mu byokwerinda atenga ekitundu kya East Africa awamu kyonna kitebenkedde awatali lutalo.
Agambye nti talaba nnyo makulu gakujaguza mefuga.
Wabula gavumenti ya NRM, ezze yenyumiriza mu bitukiddwako bagamba ntiwabaddewo enkulakulana eyomugundu mu byenfuna, ebyobukulembeze, embeera zabantu nebirala mu myaka 30 egiyise.
Emikolo gyamefuga gigenda guvugira ku mubala mu lunyanyimbe, ‘Celebrating our 59th Independence day as we secure our future through a national mindset change” ngessira litereddwa ku kukyusa endowooza zabantu.
Abagenyi 600 bebayitiddwa ku mikolo gyamefuga okwegatta ku mukulembeze wegwanga, Yoweri Museveni e Kololo okujaguza olunnaku lwenkya.
Ate omubaka wa Uganda e Kenya Dr Hassan Galiwango atongozza entekateeka zokukuza amefuga ga Uganda aga 59 mu gwanga eryo.
Ebikujjuko bigenda kubeera Mombasa nga bigatiddwa wamu nomwoleso, okulaga ebyobulambuzi ebiri mu Uganda, ebyenjigiriza nebirala.
Mu bubaka bwe Dr. Galiwango, agambye nti guno mukisa eri egwanga okulaga ebirungiri ebiri mu Uganda.