Amawulire

Kooti ejjulirwamu ekendeeezza ekibonerezo kya Ssebuufu

Kooti ejjulirwamu ekendeeezza ekibonerezo kya Ssebuufu

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Kooti ejjulirwamu ekendezezza ekibonerezo ekyemyaka 40 ekyali kyaweebwa omusubuzi Muhammad Ssebuufu okuda ku myaka 18 nomwezi gumu, saako ennaku 9.

Kooti enkulu onoyamusingisa omusango gwokutemula omusubuzi Dona Betty Katushabe mu mwaka gwa 2018.

Abalamuzi ba kooti ejjulirwamu 3, okubadde omulamuzi Fredrik Egonda-Ntende, Catherine Bamugemereire ne Christopher Madrama era bakendezezza nebibonerezo eri banne ba Ssebuufu bwebavunanibwa okudda ku myaka 16.

Abalamuzi bagambye nti ekibonerezo kino kyali kyasukka obukambwe, nga kooti eyasooka yalemererwa okutunulira ekyokuba nti abavunaanwa, gwegwali omulundi ogwabwe ogusooka okuzza omusango.

Wabula banywezezza engasi eyobukadde 100 kooti enkulu zeyalagira okuliyirirra famile yomugenzi Katushabe.

Wabula emisango gyobwa kkondo nokuwamba omuntu gibajiddwako.

Dona Betty Donald Katushabe yattibwa nga kigambibwa nti Ssebuufu omusubuzi wemmotoka owa Pine Car Bond ne poliisi baamukuba olwebbanja lyabukadde 9 lyeyali amubanja ku mmotoka gyeyali amuguzizza obukadde 13.