Amawulire
Rev Fr Mugisha bamujeeko emisango gyobutemu
Bya Gertrude Mutyaba
Akulira abawaabi ba gavumenti e Masaka agye emisango gyobutemu ku Rev Fr Richard Mugisha ow’eBisanje.
Fr Mugisha ne Joseph Mutayomba akulira abakuumi ku kyalo Bisanje baali baggulwako omusango gw’okutta Ronald Kyeyune ate eyafiira mu kaddukulu ka poliisi.
Ono baali baamukwata ku misango gyokubba nokwonoona mmotoka ya Fazza Mugisha, nga yasangibwa ngali bukunya munda mu kigo.
Kati Father Mugisha agambye nti musanyufu olwekyo ekikoleddwa okumujjako emisango, kubanga abadde tajimanyi era teyajizza.
Munnamateeka wa Fr Mugisha Alexander Lule ategeezezza nga poliisi bwetabadde na bujulizi obulumira ddala nti abavunaanwa emisango baagizza.
Agambye nti omuwaabi wa gavumenti yawabudde poliisi emisango bagisuule, kubanga babade tebajja kusobola kugenda mu maaso nomusango ogutaliiko bujulizi.