Amawulire
Omwana agudde mu mugga nafiramu
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Namisindwa enonyereza ku nfa yomwana owemyaka 3, eyagudde mu mugga.
Bino byabadde ku kyalo Buuta mu tawuni kanso ye Lwakhakha era mu disitulikiti ye Namisndwa.
Kigambibwa nti omwana ono, yasirittuse okuva mu mikono gya maama we, nagwa mu mugga Lwakhakha bwebabadde basalinkiriza mu kitundu kye Bukhonjo.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika akaksizza okufa kwomwana ono, wabula agambye nti banonyereza ku maama yandiba nga yalagajalidde omwana natuuka okugw amu mugga okufiramu.