Amawulire
Abasawo bakontanye ku byakediimo
Bya Musasi Waffe
Abasawo balangiridde nti baakugenda mu maaso nakediimo kaabwe, okwawukana ku byayogeddwa pulezidenti waabwe Dr Samuel Oledo eyabadde ategeezza nga bwebagenda okuyimiriza akediimo kano.
Ssabawandiisi wa Uganda Medical Association Dr Herbert Luswata agambye nti ebikolwa byabwe bikyali wansi okutuusa nga gavumenti etukirizza ebisubizo omukulembeze wegwanga byazze akola gyebali nemu lukiiko lwebalimu wiiki ewedde, nga bitereddwa mu nkola.
Luswata agambye nti ng’ojeeko okutukiriza ebisubizo gyebali neeri abasawo abakyayiga okuli okubongeza emisaala, betaaga okunyonyolwa okuva mu gavumenti kungeri gyebanawebwamu emmotoka awatali kubawooza musolo, wakiri eri abakugu 10 aba waggulu abebuzibwako.
Agambye nti bagenda kwongera okuteseganya nabakulu mu gavumenti kungeri yokuteeka mu nkola ebisubizo byonna.
Abasawo baasisisinkanye abakulu mi minisitule yebyensimbi, okumanya lwaki nebiale byabasawo abakyali mu kutendekebwa tebinaasulwa.