Amawulire

Omwana yetuze ng’atya okumubonereza

Omwana yetuze ng’atya okumubonereza

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Omwana owemyaka 11 abadde amaze olunaku ng’abuze, asangiddwa nga yetugidde ku muti ng’alengejja.

Bino bibadde ku kyalo Bugana mu gombolola ye Butenga mu disitulikiti ye Bukomansimbi, ngomugenzi ye Najibu Ssembawa.

Ab’oluganda bagamba nti nyabwe yabaleseewo kyokka ennyumba nekwata omuliro ebintu ebyabadde mu kisenge n’ebisaanawo, nga kiteeberezebwa nti okwetta yatidde kubonerezebwa.

Ssentebe wekyalo kino John Mivule agambye nti abantu babadde batebereza nti omwana ono waliwo eyamusse okutuusa poliisi lwezze nemwekebejja.