Amawulire
Abasomesa B’Olufalansa bakukulumidde gavumenti
Bya Ndhaye Moses
Ekibiina ekigatta abasomesa bolumimi Olufalansa, Association of Teachers of French in Uganda balaze okutya ku muwendo gwabayizi abasoma olulimi luno, ogugenda gukendeera.
French gegamu ku masomo, aga Kyeyagalire wabula bangi tebakyasoma lulimi luno, okuva gavumenti lweyakendeeza amasomo mu siniya okuva ku 43 okudda ku masomo 21.
Pulezidenti wekibiina kino Muhindo Isevahani agambye nti enkoa eyo yakosa okusoma kwennimi engwira nga Nolu-Falansa mwolutwalidde.
Wabula agambye nti olulimi luno lukulu nnyo mu kitundu kyobuvanjuba bwa Africa.
Kino era agambye nti kikosezza nabasomesa 366 abasomesa French mu Uganda, mu masomero 256 okwetoloola egwanga.