Amawulire

Museveni akungubagidde Mutebile

Museveni akungubagidde Mutebile

Ivan Ssenabulya

January 28th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni asabye abakozi ba gavumenti, okutwala ekyokulabirako kya Prof Emmanuel T. Mutebile, abadde gavana wa Banka yegwanga enkulu.

Agambye nti abadde yewaayo okuwereza egwanga mu mazima nokwewaayo.

Museveni abadde mu kusabira omwoyo gwomugenzi e Kololo, nasiima Prof Mutebile olwebyo byonna byakoledde egwanga okutebenkeza ebyenfuna, okuleeta enkyukakyuka nokutunda ebitongole bya gavumenti.

Mukyala w’omugenzi Mutebile, nga ye Betty Mutebile naye ayogedde ku kabiite we, ng’omusajja abadde omukozi.

Agambye nti abadde musirise, mugabi ate ayagala famile ye.