Amawulire

Gavumenti egenda kusengula abantu 5000 e Obongi

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2022

No comments

Bya Musasi Waffe

Gavumenti yeyamye okusengula abantu 5,000 okubajja mu bifo ebikosebwa amataba, mu disitulikiti ye Obongi okubatwala awalala webanabeera obulungi.

Obweyamu buno bukoleddwa ministule yebibamba nebigwa tebiraze, abakulu mu ministule bwebabadde basisinkanye abakulembeze nabantu abakosebwa.

Mu mwaka gwa 2019 amataba gaalumba ekitundu kino, oluvanyuma lwomugga Nile okubooga.

Abantu bikumi na bikumi badduka mu maka gaabwe, okunoonya okubeerwa awalala.

Ebintu okwali amayumba, ebirime, ebisolo byabatuuze nebirala, byayononeka.

Ebitundu ebyakosebwa kuliko Aliba, Gimara, Itula, Paloriya ne tawuni kanso ye Ewafa.