Amawulire
Ab’e Butoloogo bagala kwekutula ku Mubende
Bya Barbra Nalweyiso
Abatuuze abawangaalira mu muluka ogw’e Kannyogoga mu ggombolora y’e Mududu basabye okukyusa ensalo za district y’e Mubende badde e Kassanda, bagamba nti Mubende ebasuliridde nnyo.
Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu bweyali eramba ensalo za districts ebbiri, Kassanda yatwala eggombolora y’e Kalwana Mubende nesigaza Butoloogo, wabula bagamba district tebafuddeeko kubawa buwereza.
Bagamba nti tebalina amazzi mayonjo, enguudo n’ebyobujjanjabi bibi ekivuddeko n’ebbeeyi y’ebirime okugwa mu kitundu ekyo.
Omuwandiisi w’eby’ensimbi n’enzirukanya y’emirimu ku kitebe kya district e Mubende Tumusiime Vicent, akkaanyizza n’abantu b’e Butoloogo wabula nasubiza nti istrict erina enteekateeka okubayambaku byonna byebemulugunyako.