Amawulire
Sudir awangudde omusango gwa Crane Bank
Bya Ruth Anderah
Kooti ensukulumu eragidde Banka yegwanga enkulu, eriyirire Crane Banka, mu musango ogukulungudde emyaka 5 wakati waayo n’omusubuzi Sudhir Ruparelia, eyali nanyini Crane Bank Ltd.
Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu Rubby Opio Aweri balamuddde nti Bank of Uganda kubanga bebasazeewo okujjawo omusango gwebaali bajulira okuva mu kooti zamirndi 2 eza wansi.
Abalamuzi era balagidde nti Crane Bank eyagwa nerangirirrwa nti tekyasobola mu 2018 edizibwe Sudhir ne bannayini yo abaagirinako obwananyini.
Ennamula eno yekomekerezza omusango ogukulungudde emyaka 5 wakati wa Sudhir Ruparella, kampuni ye eya Meera investment Ltd, Crane Bank Ltd nga balwanagana ne Bank of Uganda okuva mu 2017.
Banka Enkulu yali erumiriza Sudhir okuyita mu kampuni ye Meera Investments okujja mu Crane Banka obuwumbi 397 ekyajivirako okugwa.
Omulamuzi wa kooti yebyobusbuzi David Wangututsi yagoba omusango guno, nebajulira mu 2020 era kooti eya waggulu nehyweza ennamula yeemu.
Bank Enkulu yeyongerayo mu kooti ensukulumu, gwemusango ogulamuddwa olwaleero, nga banyweza ennamula ezava mu kooti eza wansi.