Amawulire

Olwaleero lunnaku lwa Leediyo

Olwaleero lunnaku lwa Leediyo

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulereetu oba Radio gwemukutu gwempuliziganya era ensimbuko yokumanyisa abantu ekyakutte ekisooka wakati mu namungi wemikutu egiriwo.

Kino kibikuddwa abekitongole kya UNESCO, nga bagamba nti Radio ekyali yamaanyi, kubanga etuuka ku bantu bangi ateera newa nemikisa okumanya ku bintu bingi, okuli okukubaganya ebirowoozo ku democrasiya neddembe lyobuntu.

Buno bwebubaka obujidde ku lunnaku olwaleero ngensi ekuza olunnaku lwa Radia, olwa World Radio Day olukwatibwa buli nga 13 February okwefumintiriza n’okusiima Radio omukutu gwebyempulizganya nansangwa.

Omwaka guno, olunnaku luvugidde ku mubala mu nomulanga eri emikutu gya radio okulujaguza ate nokutetaekanga ebyo ebigwanidde eri abantu okuwulira.

Bino byebijaguzo ebyomulundi ogwe 11, ngokusinziira kuba BBC, ebyafaayo biraga nti aba 8MK mu Detroit-Michigan mu America, bebasooka okukola amaulire ku radio nga 31 August, mu mwaka gwa 1920.

Mu mwaka gwa 2011, aba United Nations Educational, Scientific and Cultural Organization (UNESCO) balangirirra olunnaku luno, oluvanyuma ttabameruka wa United Nations General Assembly mu 2012 olunnaku nebarutongoza.