Amawulire

Abakugu babusabuusa omukago gwa Africa Global Security Foundation

Abakugu babusabuusa omukago gwa Africa Global Security Foundation

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Abakugu era abalondoola ensonga zebyokwerinda, bagamba babusabuusa omukago ogwatondedwawo amawanga ku byokwerinda ogwa Africa Global Security Foundation.

Omukago guno gwatandise nensi 5 okuli; Congo Brazaville, DRC, Mauritius, Senegal, Togo ne Uganda nga gwatongozebwa wiiki ewedde mu kibuga Dakar e Senegal.

Eyali ssabaminisita wegwanga John Patrick Amama Mbabazi ye ssentebbe womukago eyasokedde ddala.

Bwabadde ayogerako naffe Prof Ogenga Latigo, eyaliko akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, nga yakirirako ne Uganda mu Pan African Parliament agambye nti omukago guno tegulina mirandira giguwaniridde mu mateeka.

Yye Dr Solomon Asiimwe yagambye nti tanategeera bulungi biki ebigenda okukolebwanga omukago, era gwandimaliriza nga gusigadde mu bigambo.

Agamba nti alabanga byebasimbyeko amannyo era ebikolebwa omukago gwa Africa Union awamu.