Amawulire

Egwanga ligenda kusabira Oulanyah olwaleero

Egwanga ligenda kusabira Oulanyah olwaleero

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Omubiri gwomugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti eyomulundi ogwe 11 gugenda kujibwa ku palamenti amakya ga leero okugutwala ku kisaawe Kololo mu kusaba kwegwanga, okwategekeddwa.

Okusaba kuno kugenda kukulemberwamu Ssabalabirizi wekkanisa ya Uganda Dr Samuel Steven Kaziimba Mugalu, nga kugenda kwetabwako nomukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni.

Omubiri gwomugenzi gwasuze ku palamenti, gyegwatwaliddwa olunnaku lweggulo okuva mu maka g’eMuyenga.

Okusinziira ku minisita wnesonga zobwa pulezidenti atenga ye ssentebbe wolukiiko olutegeka okuziika Milly Babalanda, abantu 1,500 bebayitiddwa okwetaba mu kusaba kuno.

Kuno kuliko ababaka ba palamenti, ba minisita nabakungu abalala.

Oluvanyuma lwokusaba, omubiri gwa Oulanyah gugenda kutwalibwa mu nnyonyi, ku butaka ku kyalo Lalogi mu disitulikiti ye Omoro, gyegugenda okusula guberewo olunnaku lwenkya azikibwe ku lunnaku Lwokutaano.

Gavumenti yategezezza nga Oulanyah bweyafudde ebirwadde ebyenjawulo, oluvanyuma lwobuvune ku bintundu bye ebyomunda mu mubiri.

Mungeri yeemu, poliisi efulumizza okulungamya kwentambula yebidduka, mu kusaba kwa leero e Kololo.

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka Faridah Nampiima agambye nti enguudo okuli; Upper kololo, Elgon terrace, lower kololo ne Wampewo Avenue zigenda kuggalwa kulwobulungi bwentekateeka.

Agambye nti entambula ejja kuddayo mu mbeera eyabulijjo, omukungubazi omukulu omukulembeze wegwanga bwanaaba avudde mu kifo ekyo.

Nampiima asabye abantu babulijjo naddala abasula mu bitundu bye Kololo okukozesa enguudo endala zonna ezisoboka okutuuka ku Jinja road, Kira road, Acacia avenue nenuudo endala okugenda ku mirimu gyabwe.

Oluguudo lwa John Babiha lugenda kukozesebwa abagenyi, abalala bajja kukozesa Elgon terrace okutuuka e Kololo eri abo abava ku Jinja road atenga abali mu bitundu bye Nakawa bagenda kukozesa Lugogo, Join Upper Kololo, Impala Avenue atenga bagenda kuziteeka ku ssomero lya City high school.

Bava ku Jinja road nemu masekati ga Kampala bagedakukozesa Wampewo Avenu, basimbe mmotoka ku Africana.

Nampiima alabudde nti tewali boda boda zigenda kukirizibwa mu bitundu bye Kololo.