Amawulire

Abaana abazaalibwa n’ebigere ebyewese abasinga tebafuna bujanjabi

Abaana abazaalibwa n’ebigere ebyewese abasinga tebafuna bujanjabi

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2022

No comments

Bya Ndaye Moses,

Minisitule eye byobulamu egamba nti abaana abazaalibwa ngebigere byabwe byefunyiza okudda munda oba ebweru abafuna obujanjabi tebawera na bitundu 50%

Okusinzira ku Dr. Charles Oralo, akulira ebyobujanjabi mu minisitule eno, mu Uganda, abaana 2,000 bebazaalibwa buli mwaka nga ebigere byabwe tebiteredde nga bye birina okubeera mu luzungu kimanyidwa nga clubfoot.

Minisitule ebibalo byayo biraga nti ku buli baana 8 abazaalibwa omu aba nembeera eno nga nokusinga kiri nyo mu baana abobulenzi.

Disitulikiti okuli Mbale, Wakiso, Mbarara, Wakiso, Moroto, Jinja ne ndala zezisingamu abaana abakyama ebigere.

Dr Olalo kati agamba nti bakwataganye naba National Clubfoot program okutuusa obujanjabi eri abaana bano.