Amawulire

Gavt esabiddwa okufulumyanga alipoota ku bafudde nga  bukyali-Mayiga

Gavt esabiddwa okufulumyanga alipoota ku bafudde nga bukyali-Mayiga

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kamala byonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, asabye gavumenti eyanguyirizengako okufulumya alipoota ku bakungu baayo ababa bafudde okwewala abantu okutebereza.

Ono okwogera bino kidiridde abakungu ba gavt abawerako okufa gavt nelwawo okufuluya alipoota kunfa yaabwe ekivirako bannauganda buli omu okwogera kyalowooza nti kyekisse omugenzi, nga ne kikyasembyeyo yabadde sipiika wa palamenti, Jacob Oulayah.

Kitaawe yakindinganye emirundi 2 nti mutabaniwe teyafa ndwadde wabula yaweebwa butwa newankubadde oluvanyuma minisita owebyobulamu mu ggwanga Dr Jane Ruth Aceng yategeeza eggwanga nti Oulanyah yafa kirwadde kya kokolo nendwadde eza njawulo ezanafuya ebitundu bye ebyomunda.

Bino abyogedde ayogerako eri bannamawulire e Bulange Mengo, Magiya naagamba nti engeri yokka gavt gyesobola okwewala okugyogerako amatankane, esaanye awenga alipoota bannauganda ku bakungu ba gavt ababafudde mungeri etategerekeka.