Amawulire
Abasawo balagiddwa okudda ku mirimu
Bya Moses Ndaye,
Ekibiina omwegatira abasawo abazaalisa mu ggwanga ki Uganda Nurses and Midwives Union kiragidde abasawo abavunanyizibwa kukutereka ebiwandiiko bayite ba records officers, okudda ku mirimu bave mu kwekalakaasa.
Abawandiisi bano okuyita mu kibiina ekibagatta ki Bonded Uganda Health Information Officers ne Medical Coders Association (BUMECA) bateeka wansi ebikola nga 1st April nga bawakanya omusaala omutono gwe bafuna.
Wabula mu kwogerako ne bannamawulire pulezidenti wa basawo abazaalisa, Justus Cherop says, agambye nti bali mu nteseganya ne gavt kunsonga za bano kale nga basanye okudda ku mirimu nga bwebalinda ekiva mu nteseganya.