Amawulire

Minisita Kasaija nábabaka beeyogeredde ebisongovu ku lw’endagano yémmwanyi

Minisita Kasaija nábabaka beeyogeredde ebisongovu ku lw’endagano yémmwanyi

Ivan Ssenabulya

April 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye ne Benjamin Jumbe,

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko ak’eby’obusubuzi bewunyiza bwebakitegedde nti gavumenti yakola endagano ye mwanyi nemusiga nsimbi nga tesoose kwetegereza oba yali akozeeko ekatala eryamuweebwa.

Kino kidiridde Charles Byarugaba,omukungu okuva mu minisitule ye byensimbi okutegeeza ababaka nti teyasooka kugezesa kampuni ya musiga nsimbi eyaweebwa omulimo gwokugula nokutunda emwanyi ezirimwa kuno.

Wabula mu kwewozako minisita owebyensimbi eyateeka omukono kundagano eno Matia Kasaija abuulidde ababaka nti gavt yali teyetaaga kusooka kugezesa musiga nsimbi oba asobola kuba yyo yali eyagala muntu agenda okwongera omutindo ku mwanyi za Uganda.

Kino kinyiziza ababaka era omubaka wa Jinja North division David Aga Isabirye kwekusaba minisita alekulire kuba alabika takyasobola mirimu wabula minisita Kasaija naye amwambalidde ekireesewo okuwanyisiganya ebisongovu.

Bino we bigidde ngólunaku lweggulo ababaka ba palamenti abakabondo ka NRM bayimiriza endagaano eyakolebwa era ne basabagavt eddemu yetegereze endagano eno.

Ate ye ssabawolereza wa gavt Kiryowa Kiwanuka awakanyiza ebigambibwa nti gavt esuusuuta bamusiga nsimbi abava ebweru abawano ne balekerera.

Kiwanuka bino abyogedde alabiseeko mu kakiiko ke byobusuubuzi okutanya ku bikwata kundagano ye mmwanyi.