Amawulire
Palamenti egaanye okugya omusolo ku Migaati
Bya Prossy Kisakye,
Palamenti egaanye okugya omusolo ku migaati nébigikola.
Kino kidiridde omubaka wa Kampala central Muhammad Nsereko, okusaba palamenti mu kifo kyókusonyiwa abawoteeli emisolo mu kusikiriza abalambuzi wakiri emigaati gyegiba gigibwako omusolo ku gyetanirwa nyo abavubuka.
Ono agamba nti abalambuzi abagenda mu mawoteeli bbo balina obusobozi okwesasulira ebisale byaazo songa ebbeeyi yómuggaati nga bweri mu ggwanga bangi ku bavubuka tebagisobola songa kyekyokulya ekyangu gye bali okunywerako ku ccaayi nga tebafunye zigula mmere.
Wabula mu kumwanukula sipiika wa palamenti Anita Among, yebuuziza lwaki omubaka Nsereko ayagala okugya omusolo ku mugaati songa abantu mu byalo bbo batunulidde munnyo na sukaali.