Amawulire
Abaliko obulemu benyamivu olwe bbula ly’emirimu
Bya Prossy Kisakye,
National Union of Disabled Persons of Uganda (NUDIPU) ekibiina ekigatta abantu abaliko obulemu mu gwanga, balaze okutya ku bbula lyemirimu eryeyongedde mu baliko obulemu.
Ssenkulu wekitongole kino Esther Kyozira, agambye nti kino kyongedde okutekawo okutya n’okusomozebwa gyebali.
Agambye nti banaabwe bangi abasoma era abalina obukugu okukola emitimu naye tebafunye mukisa nenkyongera okuzibuwa obulamu bwabaliko obulemu.
Asabye gavumenti okukitunuliira wakiri emirimu gya gavumenti 10% bagiteeke ebbali kulwabantu abaliko obulemu.