Amawulire
Palamenti eyisiza embalirira ya 2022/23
Bya Rita Kemigisa,
Palamenti eyisiza embalirira yomwaka gwe byensimbi 2022/23 yabusse 48.1 era essira litereddwa mu kubulula ebyenfuna bye ggwanga oluvanyuma lwokukosebwa ekirwadde kya Covid-19.
Embalirira eyo yakuwagirwa wansi womulamwa “okuwagira amakolero ne kigendererwa kyokuleeta enkulakulana.
Embalirira yomulundi guno yeyongeddeko nobusse 3.3 okuva kubusse 44.7 obwali mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi gwetukomekereza.
Bwabadde ayanja embalirira eno eri ababaka, ssentebe wakakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku mbalirira, Patrick Isiagi agambye nti embalirira eno ensimbi zongedwamu kuba Uganda erina amabanja gelina okusasula wano ne bweru we ggwanga.
Ministry ye byensimbi eweereddwa obusse 2.3, eyebyokwerinda 1.2, eye byettaka obuwumbi 503 billion.
Ekitongole kye byenguudo kiweereddwa obusse 2.5