Amawulire

Bannauganda basabiddwa okwongera okuggumira embeera ku beeyi y’ebintu

Bannauganda basabiddwa okwongera okuggumira embeera ku beeyi y’ebintu

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule yébyensimbi esabye bannauganda okugumira emiwendo gye bintu egyekanamye kuba okupapira okuvaayo ne byokudamu kyakukosa ebyenfuna gye bugya.

Bwabadde ayogerera mu musomo ogukwata ku beeyi ye bintu, minisita omubeezi owa guno na guli mu minisitule ye byensimbi Henry Musasizi, agambye nti gavt eri mu kuvaayo ne nkola ezinayamba okuzza embeera munteeko nókwongera ku bungi bwe bintu ebikolebwa.

Ono awadde abalimi amagezi okwetanira okulima ebirime ebikula amangu nga ebinazi, simusimu ne soya basobole okunoga ensimbi ku katale kensi yonna.

Era ategezeza nga gavt bwegenda okuyambako bannauganda okwedabulula okuyita mu kuteeka ensimbi mu myooga ne Parish Development Model.