Amawulire

Besigye asuzze mu Komera e Luzira

Besigye asuzze mu Komera e Luzira

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Eyavuganyako kuntebbe eyobuk bweggwanga enfunda nya era nga yakulembera ekisinde kya People Front for Transition (PFT), Dr.Kiiza Besigye asimbiddwa mu kkoti navunanibwa emisango okuli okukuma omuliro mu bantu nagyegaana.

Besigye agaanye n’okusasula obukadde bwensimbi 30 nga akakalu asobole okweyimirirwa

Omulamuzi wa kkooti ey’okuluguudo Buganda Siena Owomugisha abadde alagidde Besigye besigye ayimbulwe ku kakalu ka bukadde 30 ezabuliwo ate abamweyimirira okuli halod kaijja ne wafula oguttu balagiddwa obukadde 70.

Wabula munnamateekawe Lawyer,Erias Lukwago,  agambye nti omuntuwe agaanye okusasula ensimbi nti mpitirivu nyo nasaba baziwakanye kye bagenda okukola olunaku lwenkya.

Kino kitegeeza nti Besigye wakwebaka ku mmeere e Luzira okutuusa nga June 16th 2022 lwalidda mu kkoti okwongera okuwulira omusango gwe.

Ono yagombedwamu obwala olunaku lweggulo ku Arua Park mu kampala wakati bweyabadde agezako okukunga bannauganda bekalakaase bawakanye ebbeeyi ye bintu eye kanamye.