Amawulire

Babiri betuze e Lyantonde

Babiri betuze e Lyantonde

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Poliisi mu bendo-bendo lye Masaka ebakanye n’eddimo ly’okunoonyereza ku kyaviiriddeko abantu babiri okwetta mu district ye Lyantonde okubadde ne ssentebe w’ekyalo.

Abagenzi bategeerekese nga Julius Mutabaazi myaka 52 ng’ono abadde ssentebe w’ekyalo Lwakasolola mu town council ye Lyantonde mu district ye Lyantonde.

Kigambibwa nti ssentebe ono yakozesezza wire y’amasannyalaze neyeetugira mu kazigo ke kaabadde apangisa nga ekimuviiriddeko okwetta tekinategeerekeka.

Mu ngeri y’emu ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Biwolobo mu district ye Lyantonde mutuuze munabwe amanyiddwa nga Antonio Matovu Lwanga bweyeewadde obutwa neyetta.

Okusinziira ku Beatrice Mbabazi omutuuze ku kyalo kino atubuulidde nti ono yaandiba nga abadde akooye ensi olw’okuba nti abadde mulwadde saako n’okubeera n’abakazi abangi ababadde bamukanda ensimbi.

Ayogerera poliisi mu bendo-bendo lye Masaka Muhammad Nsubuga akakasizza okwetta kw’abano naakubiriza abantu okubaako banabwe bebabuulira ebizibu byabwe okusinga okwetta.