Amawulire
Besigye agombedwamu obwala mu Kibuga wakati
Bya Prossy Kisakye,
Ssentebe wékisinde ekya People’s Front for Transition Dr Kiiza Besigye agombedwamu obwala olunaku lwa leero oluvanyuma lwokukuba poliisi ekimooni nafuluma amakage nayingira ekibuga mu ntekateekaye eyókuwakanya ekye beeyi ye bintu eyekannamye.
Besigye nga yavuganyako ne kuntebbe eyomukulembeze weggwanga enfunda nya, omwezi oguwedde lweyatandika okutambuza ebigere nga awakanya ekya gavumenti okusirika obusirisi nga bannauganda bakaaba twawa ngentulege olwe bbeeyi ye bintu eye kannamye.
Wabula bukya yalangirira kawefube ono poliisi ezze emulemesa okugusa ensongaye era abadde ayakava ku alimanda mu kkomera e Luzira kunsonga yemu.
Leero bwatuuse mu kibuga wabadewo okusasamaza bannakibuga ku luguudo lwa Nakivubo ekibagudde poliisi okumukwata.
Munnamateekawe eranga ye loodi meeya wa kampala Elias Lukwago atubuulidde nti batandise okukola ku byokumuyimbula okuva mu CPS wabadde akyakumirwa.
Bino okubaayo nga ne minisita avunanyizibwa ku byensimbi matia Kasaijja abadde atekateeka kusoma mbalirira ye ggwanga ku mukolo ogubaddeko nómuk weggwanga.