Amawulire
UPDF egudde ku nkambi ya bayekera aba ADF
Bya Ivan Ssenabulya
Ekikwekweto kigenda mu maaso ku kyalo Kikuba-Jinja Piida mu Kasana Luweero, eggye lye ggwanga erya UPDF ligezako okwetegereza enkambi egambibwa okuba eya bayekera ba ADF gyebagudeko.
Omwogezi we ggye lye ggwanga erya UPDF Brig Gen Felix Kulaigye olunaku lweggulo yakakasiza nga bwebagudde ku nkambi eno
Kati mu kwogerako ne radio eno, omu ku batuuze atubuulidde nti ekikwekweto kigenda mu maaso ewamuliranwawe era waliwo na bakwatibwa.
Amaka agazinzidwako kitegerekese nti ga musajja eyakazibwako erya musiramu.
Abebyokwerinda bakufulumya ekiwandiiko ku bigenda mu maaso mu nkambi eno gye bujja.
Gavt ezze elumiriza abayekera ba ADF okuba nti bebali emabega wa boomu ezaakubwa mu kampala gye buvudeko