Amawulire
Kaliisoliiso asesemeza abakungu sente
Bya Benjamin Jumbe,
Kalisoliiso wa gavumenti alagidde abakungu mu minisitule yebyobulimi 15, bakomyewo obuwumbi 9 kigambibwa zebabulankanya.
Abakulu ku ttendekero lyebyobulimi erya Bukalasa Agriculture College and Fisheries training institute babadde banonyerezebwako ku buwumbi 9
Okusinziira ku kunonyereza, minisitule yawa amatendekero gebyobulimi gamirundi 2, ssente mu kiseera kyomuggalo gwa ssenyiga omukambwe okukola emirimu.
Ssente wabaddewo okwebuuza baazikoseza ki, kubanga tewaaliwo mirimu gitambula.
Bwabadde alangirira byebaazudde oluvanyuma lw’okunonyereza, kalisoliiso wa gavumenti Beti Kamya agambye nti ku buwumbi 10 n’obukadde 200 ezabaweebwa obuwumbi 8 nobukadde 700 bazibulankanya.
Agambye nti bakanyizza nabavunaanwa nti basasaule ssente zino mu myaka 2 nga tebagenze mu kooti.