Amawulire
Palamenti ewagidde eggye eryawamu okugenda e Congo
Bya Prossy Kisakye,
Ssentebe wa kakiiko ka palamenti akakola ku byókwerinda Rosemary Nyakikongolo ayaniriza ekyókusindika eggye eryawamu mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo.
Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku palamenti, Nyakikongolo agambye nti eggye lino lyalwawo nókugendayo kuba olutalo luno lusanyalaza entambula ye mirimu mu mawanga gannamukago.
Ono agambye nti nendagano ezatekebwako emikono wakati wa mawanga ga EAST Africa ziri mu bulabe.
ATE Ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party kivumiridde embeera eyóbutabanguzo egenda mu maaso mu ggwanga erya Democratic republic of Congo.
Kino kidiridde okulwanagana okwazeemu wakati wa bayekera ba M23 na maggye ga gavt mu kibuga Bunagana nga kivirideko abantu okwabulira amaka gabwe ne bintu okwononebwa nókuggala ezimu kunsalo wakati wa DRC, Uganda ne Rwanda
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio avumiridde kyayise embeera eye kitta bantu ekigenda mu maaso mu bitundu ebyobuvanjuba bwa DR Congo, agambye nti teyetagisa.
Asabye enjuyi zombie eziri mu kulwanagana okutuuka kunzikiriziganya kitaase abantu abafiira obwemage.
Mungeri yemu avumiridde eky’amawanga okuwgira ebikolwa ebyóbuyekera mu mawanga aga EAST Africa.