Amawulire
Aba NUDIPU si bassanyufu ne Gavt
Bya Benjamin Jumbe,
Ekibiina omwegatira abantu abaliko obulemu mu ggwanga ki National Union of Disabled Persons of Uganda, kyenyamidde olwa gavt okulemererwa okutekawo ebiyambako abantu abaliko obulemu mu ggwanga
Bino bibadde mu lukungana olugenderedde okutumbula nókukuuma eddembe lya bantu abaliko obulemu mu ggwanga.
Ensisinkano eno ebademu abakakiiko akavunayizibwa ku kukuuma eddembe lyobuntu mu ggwanga aka UHRC, ebitongole bya gavt ebyenjawulo ebikola ku baliko obulemu.
Akulira ekibiina kya NUDIPU, Esther Kyoziira, agamba nti abantu babwe bali mu bulamu obuteyagaza naye nga ebimu ku birina okubayamba birina kuva mu gavt.
Anokodeyo ekyokutendeka abasomesa abanabangula abantu abaiko obulemu, obutaba na bitabo mwe basomera nókuba nti bakalubirizibwa okufuna empereza ya gavt mu bifo ebyolukale.