Amawulire
Abatuuze b’ekubidde enduulu ku byóbulamu
Bya Gertrude Mutyaba,
Abatuuze ku mwalo gwe Kamuwunga e Kalungu beekubidde enduulu eri abakulembeze baabwe okubayamba ku kabuyonjo ezajjula nga beetaaga obukadde busatu okusasula ebimotoka ebirina okunuunamu obukyafu.
Abatuuze ku mwalo guno bagamba nti okuva amaggye bwegaabagoba ku nnyanja, tebakyasobola kufuna yadde akasente akagula eby’okulya nga kati okusonda obukadde obusatu okutereeza kabuyonjo bayinza okumala emyaka nebisiibo nga tebazifunye.
Ronald Ssemanda ssentebe w’ekyalo Kamuwunga, atubuulidde nti bulijjo buli mmotoka ya kazambi eyoolwa bajiwa 250,000/ wabula oluvannyuma lw’amafuta okulinnya babongezza kati nabo baagala 300,000/=.