Amawulire
Kaliisoliiso olutalo lwókulwanyisa Enguzi mu Uganda alututte wa Katonda
Bya Damali Muhkaye,
Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya ng’aliwamu n’olukiiko olugatta amadiini enkya ya leero batongozza enkola empya ey’okulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga.
Ng’ayogerako eri bannamawulire ku Uganda media Center, mu kampala, Kamya agamba nti okunoonyereza okwakolebwa ekitongole kyakulembera mu 2021 kwalaga nti eggwanga lifiirwa obuwumbi bwa shs nga 20 buli mwaka olw’obuli bw’enguzi, ng’akakasa nti obuwumbi bwa shs 10 ku buno buva mu misolo obutereevu.
Anyonyodde ensimbi ezibwebwenebwa abakungu ba gavt okusinga baziyisa mu bakozi abempewo, okukola emirimu mungeri ya gadibe nga lye ne birala
Kamya agamba yadde nga gavt ekoze ekimala okulwanyisa enguzi wabula ekyalemedewo.
Kati gavt ekwataganye ne bannadiini okutegeka okusabira eggwanga okuva mu muzze gwobulyake, okusaba kwakubaawo kulwokutaano lwa ssabiiti eno e Kololo
Minisita w’ebyenjigiriza Janet Museveni yasuubirwa okukukemberamu okusaba kuno.