Amawulire

Abantu abasoba mu 200 bafudde enjala e Nabilatuk

Abantu abasoba mu 200 bafudde enjala e Nabilatuk

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abantu 226 bebakakasibwa okuba nga bafudde enjala eyazinda disitulikiti ye Nabilatuk esangibwa mu kitundu kye Karamoja.

Okusinzira ku tawuni kiraaka wa Nabilatuk, John Longolio, ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Naupala, Arengesiep, Lolet ne Natopojo

Anyonyodde nti kubafudde, 41 babadde batuuze be Naupala, 61 Central ward, 78 Arengesiep, 31 Lolet ate abalala 15 bé Natopojo.

Tawuni kiraaka asabye akakiiko ka disitulikiti akaddukirize okusakirira abantu abakosebwa basobole okufuna obuyambi.

Ebibalo biraga nti ku buli bakaramoja 10, 8 tebalina kyakulya oba ngemmere basigaza ntono ddala.

Abobuyinza bagamba nti abatuuze abasoba mu 900 bebakafa enjala e Karimoja.