Amawulire
Museveni alagidde ebitongole bya gavt okugula Baasi ezikolebwa wano
Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze weggwanga Museveni alagidde ebitongole bya govt okutandika okugula baasi ezikolebwa wano mu ggwanga
Bino yabyogedde ayogerako eri eggwanga olunaku lweggulo kumbeera ye byenfuna nga byeyimiridde mu ggwanga nengeri yokugyenganga.
Museveni okuwa ebiragiro bino kyadiridde musiga nsimbi okuva mu kampuni ekola baasi wano mu ggwanga, Metu Katabazi okutegeeza nga gavt bweremereddwa okugoberera enkola yaayo eyokutumbula ebintu ebikolebwa wano.
Kati yalagidde nti ebitongole bya gavt byonna birina okutandika okugula baasi ezikolebwa e Uganda kiyambeko nokukendeeza kukunabuuka kwa shilling nokugula ebintu kubuwanana okuva e bweru.
Mungeri yemu pulezidenti azze anenyezebwa okutunulira ebyokudamu ebyomumaaso mu bizibu ebiruma eggwanga mu budde buno, yategezeza nti eggwanga lisobola okweyimirizaawo awatali kwesigama ku bazungu.