Amawulire

Gavt etandise okunonyereza ku bafudde Waragi

Gavt etandise okunonyereza ku bafudde Waragi

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Minisita avunaanyizibwa ku by’amakolero, David Bahati ategezeza ababaka ba palamenti nga okunoonyereza bwekugenda mu maaso okuzuula ekirungo ekyabadde ku mwenge ogwasse abantu 14 mu disitulikiti yé Arua.

Kino kiddiridde omubaka wa Arua ow’amasekkati Jackson Atima okutegeeza palamenti ku bantu 14 abafudde n’abalala 22 okuweebwa ekitanda oluvannyuma lw’okunywa waragi amanyiddwa nga City 5.

Atima alajanidde minisitule y’ebyobusuubuzi okukebera ebintu ebicupuli ebitta abantu ku katale ebyeyongedde enyo.

Mu kwanukula, Bahati agamba nti okuva olwo minisitule y’ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi yasindise ttiimu y’abakungu okuva mu kitongole kya Uganda National Bureau of Standards okwekenneenya embeera eri mu kibuga Arua.

Agasseeko nti minisitule eyongedde amaanyi mu kaweefube w’okwewala ebintu eby’obulabe ku katale era n’alaajanira Bannayuganda okulekera awo okukozesa ebintu ebitaliiko kabonero ka UNBS.