Amawulire
Bannakyewa bazemu okusaba Gavt ku bakola Omwenge
Bya Benjamin Jumbe,
Ebibiina by’obwannakyewa ebiwakanya okukozesa omwenge bizzeemu okusaba gavumenti okwanguya etteeka erigenda okulungamya n’okufuga eby’okukola Omwenge
Kino kiddiridde abantu okunywa waragi alimu ekirungo kyo butwa mu disitulikiti y’e Arua ekyalese abantu 14 ngabafudde.
Bweyabadde ayanja ensonga eno ku mwaliiro gwa palamenti eggulo omubaka wa Arua Central, Jackson Atima, yalaze okweraliikirira olw’omuwendo gw’ebintu ebitakakasibwa era ebitali ku mutindo ebikolebwa mu ggwanga ne biteekebwa ku katale nasaba gavumenti okuyingira mu nsonga mu bwangu.
Kati bwabadde ayogera ne Dembe FM akulira pulogulaamu za Uganda Youth Development Link Rogers Mutaawe agambye nti, ekiseera kati kituuse okussaawo etteeka mu bujjuvu okulungamya n’okufuga eby’Omwenge kisobole okutaasa obulamu.