Amawulire

Abavubuka basabiddwa okukyusa endowooza baganyulwe mu PDM

Abavubuka basabiddwa okukyusa endowooza baganyulwe mu PDM

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Minisitule ey’ekikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’abantu esabye abakulembeze ba bavubuka okukyusa obwongo bw’abavubuka mu nteekateeka z’okulowooza ezigendereddwamu okubateekateeka okwenyigira mu enkola ya Parish Development Model (PDM) .

Bino byogeddwa minisita ow’ensonga z’abavubuka n’abaana, Sarah Mateke, bwabadde ayogera eri bannamawulire wakati mu kwetegekera  okukuza olunaku lw’abavubuka munsi yonna olugenda okukuzibwa nga 26th august.

Uganda egenda kuba n’ebijjaguzo byayo ebikulu ku kibangirizi kya Kawunda mu kibuga Gulu wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Omulimu gw’abavubuka mu kuteekateeka ya PDM”

Enteekateeka eno egendereddwamu okusitula Bannayuganda Obukadde 17.5 okuva mu bwavu, ebitundu 30% ku nsimbi gavt zegenda okuteeka mu pulogulamu eno zaakugenda eri abavubuka.

Kati minisita Mateke, akubiriza abakulembeze b’abavubuka okukubiriza bavubuka bannaabwe okweteeka mu kkubo ettuufu okusobola okuganyulwa mu nteekateeka eno nga beenyigira mu kukola ebintu, n’emirimu emirala egy’ebyenfuna.

Mungeri yeemu akikkaatirizza nti olwa gavumenti okufuna obuzibu mu by’ensimbi, ensimbi za PDM zigenda zakufulumira mu mitendera, buli luvannyuma lwa myezi esatu bakufulumya  obukadde bwa shs25.