Amawulire

Omuntu omulala afudde Ebola e Mubende

Omuntu omulala afudde Ebola e Mubende

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2022

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Disitulikiti y’e Mubende ekakasiza nga bwe waliwo omuntu omulala afudde ekirwadde kya Ebola.

Ono ye muntu owokubiri okufa bukya kitrwadde kyalangiriddwa olunaku lweggulo.

Akulira eddwaliro ly’e Mubende, Paul Batiibwe ategeezezza nti omugenzi mutuuze w’e Ngabano mu gombolola ye Madudu e Mubende.

Ono yaweereddwa ekitanda akawungeezi kajjo ne banne abalala 6 nga balina obubonero bwa ebola.

Batiibwe agamba nti mu kiseera kino tebalina bikozesebwa bimala kukola ku balwadde

Mugombolola ye Madudu watekedwawo enkambi mwe bagenda okwawulira bonna abateberezebwa okuba ne kirwadde.

Minisitule y’ebyobulamu yategeezezza ku Lwokubiri nti sampuli eyaggyiddwa ku musajja ow’emyaka 24 yazuuliddwa nga ya kika ky’e Sudan ekitali kya bulijjo.

Ekirwadde kino okulangirirwa kidiridde abantu 6 okufa mu disitulikiti ye Mubende mungeri etategerekeka.

Abakulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Mubende kati bataddewo ebimu ku bigenda okukomya ekirwadde kya Ebola obutasasaana ennyo.

Bayimirizza eby’amasanyu eby’engeri zonna n’okukugira abantu okuyingira mu ofiisi za gavumenti ne birala.