Amawulire

Mayiga mwenyamivu olwa Gavt okulwawo okuyimbula Ssegirinya ne Ssewanyana

Mayiga mwenyamivu olwa Gavt okulwawo okuyimbula Ssegirinya ne Ssewanyana

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Kamala Byonna wa Buganda, Charles peter Mayiga alaze obwennyamivu olwa gavumenti okulemwa okuwa obwenkanya eri ababaka ba palamenti ababiri abali ku limanda mu kiseera kino.

Ngennaku zómwezi September 7th 2022, lwegwawera omwaka mulamba bukya mubaka wa Palamenti owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya ne munne owa Makindye West Allan Ssewanyana basindikibwa mu kkomera ku byekuusa ku butemu obwebijjambiya obwakolebwa mu bendobendo lya Masaka.

Omusango gwa babaka bano teguwulirwanga era ne kawefube wabwe okudukira mu kkoti ebayimbule bawoze nga bava bweru wa kkomera naguno gujwa talaba nga mukisa.

Wabula ku bugenyi bwe butongole ku divizoni ya Makindye enkya ya leero, Mayiga avumiridde ekya gavumenti okukwata akasoobo ensonga za babaka bano.

Bwatyo asabye bawozesebwa mu bwangu bwe baba balina omusango gwebaza ate bwebabatebalina bayimbulwe.

Mungeri yemu Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago agamba nti ekibuga ekikulu ekya Uganda kirina olugendo luwanvu bwekiba kyakufuuka ekibuga eky’omulembe.

agambye nti gavumenti erina okukulembeza Kampala ngégiwarira nensimbi ezimala kibasobozese okuddamu okukuba pulaani empya ey’ekibuga oluvannyuma lw’enkadde okuggwaako, bagala okukola enguudo z’ekibuga, n’okuzimba emyala n’ebirala.

Lukwago era ayogedde ku obwetaavu bw’okujja n’enteekateeka entuufu ku ngeri bamufuna mpola gye basobola okweyagalira mu kibuga nga tebalemesa nkulakulana yakyo.