Amawulire

Kkooti egobye okusaba kwa babaka

Kkooti egobye okusaba kwa babaka

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Ekiwayi kya Court Enkulu eky’ensi yonna ekiwozesa emisango gyabakalintalo ekya International Crimes Division kiganye okusaba kw’ababaka Mohamad Ssegirinya ne Allan Sswanyana mwebaali bagalira  emisango gyabwe gigatibbwe ku file emu basobole okuwozesebwa omulundi guno.

Okusalawo kwa Court kitegeeza nti ababaka bano bombiliri bakuwozesebwa emilundi 2 ku misango egyali e Masaka wamu n’egyo egyaali e Lwengo nga ebyali mu bitundu ebyo byaletawo obutali butebenkevu mu bendo bendo lya Masaka omwaka oguwedde.

Omulamuzi abadde mu mitambo gy’omusango guno Alice Komuhangi agamba nti file zombi buli emu eriko emisango gyayo.