Amawulire

Omubaka Yorke aguddwako emisango gyókukuba omusirikale

Omubaka Yorke aguddwako emisango gyókukuba omusirikale

Ivan Ssenabulya

October 5th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omubaka wa Aringa County South mu district y’e Yumbe mu Parliament Alioni Yorke asimbiddwa mu mbuga z’amateeka ku Luguudo Buganda gyaguddwako emisango egy’okukuba omusirikale wa Polisi ku Palamenti.

Mu kulonda okw’ababaka ba Parliament eya East Africa okwali ku Parliament ya Uganda Sabiiti ewedde, kigambibwa nti omubaka ono yakkira omusirikale Alex Ssenge namupaca empi n’agakonde ng’amulanga kulagajjilira buvunanyizibwa bwe.

Mu mbeera eno, waliwo ababaka abaali batandise okwenyigira mu kulonda ng’omusirikale alaba wabula nga mpawo kyakola wadde ng’okuwenja akalulu okuva mu bantu abalala abaali besimbyewo kwali kukyagenda mu maas.

Wano omubaka weyajja obusungu ng’alanga musirikale ono kubeera nakobaane ku kyeyayita okubba obululu.
Olunaku lw’eggulo ono yayitiddwa ku kitebe kya Poliisi ekinoonyereza ku buzii bw’emsiango abeeko byanyonyola.

Ono ngalabise mu maaso g’omulamuzi Siena Owomugisha, aganye okukkiriza emisango egimusomeddwa okubadde ogw’okulumya omusurikale wa Poliisi ng’ali ku mulimu gattako n’ogw’okukuba omusirikale wa Poliisi.

Oluvanyuma ng’ayita mu munnamateeka we Kania Renato ayimbuddwa kakalu ka Court ka kakadde kamu ak’ensimbi nga kabuliwo n’abalala abamweyimiridde nebasa emikono ku biwandiiko bya bukadde 3 ezitali za buliwo buli omu.

Abamweyimiridde kubaddeko babaka banne Oguzu Lee Dennis owa Maracha County, Lokii John Baptist owa Matheniko County e Moroto wamu ne Robert Egiku akulira Ugada Development Agency.

Omusango gwakudda mu Court nga 4/11/2022 oluvanyuma lw’oluuyi oluwaabi okutegeeza ng’okunoonyereza bwekuwedde nga lwetegefu okutandika okuwulira omusango.