Amawulire

Bannauganda boogedde ebikankana ku bukadde 15 obugenda okuweebwa Mutembeya

Bannauganda boogedde ebikankana ku bukadde 15 obugenda okuweebwa Mutembeya

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Obukadde bwa siringi za uganda 15 obusasulwa omuwi wa magezi eri pulezidenti Museveni kubikwata nteeze,nakati bukyagenda mu maaso okwewunyisa bannauganda.

Dr Nassan Mutembeya, eyalondebwa pulezidenti nga 31st july, okuba omuwabuziwe ow’enjawulo ku nteeze agenda kufunanga omusaala ogukubisa emirundi ebiri kugw’omusawo asinga okusasulwa ssente ennyingi mu uganda za funa.

Omusaala guno wabula guvuddeko akajagalalo mu Bannayuganda, ng’abamu babuusabuusa emisingi egyakozesebwa okusalawo omusaala gwe, okusinziira ku bawabuzi ba pulezidenti abalala n’abayambi baabwe bafuna emisaala egiva ku bukadde bubiri nga asinga okufuna enyingi enyo afuna obukadde musanvu.

Kati akulira ekitongole kyobwannakyewa ekya Centre for Constitutional Governance, Dr Sarah Bireete asoomoozezza palamenti okussaawo etteeka erifuga omuwendo gw’abawabuzi ba pulezidenti nensimbi zebatekeddwa okufuna

Mungeri y’emu Dr Nassan ategeezezza Dembe FM nti abadde aweereza n’obunyiikivu mu kifo kye ng’omuwabuzi wa pulezidenti ku nte nga yeebuuza akajagalalo konna bannayuganda kebakoze kaaki nti ensimbi ezo zimugwanira.