Amawulire

Okugema Poliyo kwongezedwayo mu disitulikiti ezirimu ekirwadde kye Ebola

Okugema Poliyo kwongezedwayo mu disitulikiti ezirimu ekirwadde kye Ebola

Ivan Ssenabulya

October 26th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye

Gavumenti eyimirizza enteekateeka y’okutandikawo kaweefube w’okugema poliyo mu zimu ku disitulikiti ezisinga okukosebwa obulwadde bwa Ebola

Minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng agamba nti disitulikiti ezikoseddwa enyo kuliko Kampala, Mubende, Kadanda ne Wakiso.

Bwabadde ayogerera ku mukolo gw’okutongoza kaweefube w’okugema poliyo mu ggwanga mu Kampala enkya ya leero, Minisita Aceng agambye nti entekateeka eno etandika nga November 4 wakugenda mu maaso nga bwekitegekeddwa mu bitundu by’eggwanga ebirala.

Agamba nti kampeyini w’okugema poliyo enju ku nju egenderera okugema abaana abasoba mu bukadde 8.7 nga bakozesa ddoozi z’eddagala ezisoba mu bukadde 12.

Kaweefube w’okugema poliyo wakutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti; Ebiseera eby’omu maaso ebirungi eri bamaama n’abaana; kuuma Uganda nga temuli poliyo”.