Amawulire

Kisaka akubiriza abavuzi ba boda boda okwenyigira mu kulwanyisa Ebola

Kisaka akubiriza abavuzi ba boda boda okwenyigira mu kulwanyisa Ebola

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nankulu we kitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority, Dorothy Kisaka akubiriza abavuzi ba bodaboda mu Kampala okwenyigira mu lutalo olwokulwanyisa ekirwadde kye Ebola.

Bino abyogedde bwabadde atongoza omulimo gwokusomesa bannakampala mu biti ebyenjawulo ku butya bwe basobola okwekuuma ekirwadde kye Ebola.

Kawefube owo agenda kutalaaga amagombolola 5 agakola kampala ne kigendererwa ekyokusisinkana abakolera mu kibuga omuli aba booda, aba taxi, abobutale, ne akeedi nga babategeeza ku bikwata ku kirwadde kino.

Kisaka wano wasabidde aba bodaboda okuba abengendereza nga bavuga abasabaze kuba emikisa gyabwe mingi egyokukwatibwa ekirwadde kino.

Meeya wa Kampala Central, Salim Uhuru naye asabye abavuzi ba bodaboda okutwala Ebola ng’akabi ak’amaanyi eri omulimu gwabwe era agamba nti singa abantu balemerwa okwekuuma kyadibaza mu omuggalo.

Mungeri yemu ssentebe w’abavuzi ba bodaboda mu disitulikiti y’e Kampala, Siraje Mutyaba asabye bavuzi banne okugoberera ebiragiro byonna ebyateekebwawo okulwanyisa okusaasaana kwa Ebola n’okwewala okutikka abasaabaze abasukka mu omu.