Amawulire

Amasomero gobwannanyini e Kassanda gaggaddwa lwa Ebola

Amasomero gobwannanyini e Kassanda gaggaddwa lwa Ebola

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2022

No comments

Bya Barbara Nalweyiso,

Amasomero agobwannanyini mugombolola ye A Kalwana mu disitulikiti eyé Kassanda gaggaddewo okumala ennaku 14 mu kawefube wokulwanyisa ekirwadde kya Ebola.

Kansala wegombolola ye Kalwana Shakira Nantongo abuulidde Dembe FM nti okusalawo kuno kwatukidwako ekibiina omwegatira amasomero gobwannanyini e Kassanda.

Era nga kino kyadiridde abazadde benyini okukima abaana babwe ku masomero nga batya nti ebola yandikwatira abaana babwe ku masomero.

Nantongo agambye nti kati amasomero aga gavt mpozi nagamu ku gasekendule kegakyasomesa abayizi ate nga era abaana batono ddala.

Ono agamba nti na basomesa benyini ku masomero batono

Bino okubaawo nga minisita we byobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng, nga naye yali yateesa nti taamu eno bagisale eleme kuba mpavu mu kulwanyisa Ebola.

Abantu 43 bebakafuuka embuya ezikaza engoye olwekirwadde kye Ebola ate abalala 130 bebakakwatibwa ekirwadde kino bukya kibalukawo mu ggwanga mu mwezi ogwo 9