Amawulire
Museveni aggumiza bamusiga nsimbi teri Muggalo ku Uganda lwa Ebola
Bya Ben Jumbe,
Pulezidenti Museveni agumizza bannansi ba Buyindi nti ekirwadde kya Ebola Gavumenti ekikwasaganya bulungi era tewagenda kubaawo muggalo.
Bino Pulezidenti abyogeredde ku kijjulo kye yategese eri Abayindi mu Uganda mu makage e Entebbe.
Yagobye olugambo lw’omuggalo, wabula n’asaba abantu okwongera okubeera obulindaala n’okugoberera ebiragiro ebyateekebwawo okufuga okusaasaana kw’ekirwadde kya Ebola.
Ku nsonga y’obutuuze, Pulezidenti agambye nti tewasaana kubaawo nsonga ku baana nga bazadde baabwe baaliko bannansi ba Uganda.
Mungeri yeemu omukungu wa Buyindi mu Uganda, Ajay Kumar ayogedde ku nkolagana ennungi ennyo ey’amawanga gombi Uganda ne Buyindi era nasiima M7 olwobuwagizi bwawa abayindi bonna mu Uganda.