Amawulire
Abagenda okusomera kunsimbi za gav’t ennewole olukalala lufulumye
Bya Benjamin Jumbe,
Olukiiko oluvunaanyizibwa ku nsimbi z’abayizi mu matendekero aga waggulu olwaleero kimalirizza okufulumya olukalala olusembayo olw’abo abalina okuganyulwa mu nteekateeka y’okuwola abayizi essente, emanyiddwa nga student loan scheme.
Okusinziira kwákulira olukiiko luno, Michel Wanyama, abayizi 625 kwabo abasaba 3,089 bebayiseemu era bakufuna ensimbi zino mu bwangu.
Agamba nti abantu, 672 abasaba tebalina bisaanyizo.
Asaba gavumenti okwongera ku nsimbi eziweebwayo eri enteekateeka eno okusobozesa abayizi abali mu bwetaavu.