Amawulire

Museveni alagidde loodi bulooka okudda kunguudo

Museveni alagidde loodi bulooka okudda kunguudo

Ivan Ssenabulya

December 12th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omukulembeze w’eggwanga YK Museveni alagidde emisanvu ku makubo egyaali jijiddwako jizzibweko oluvanyuma lw’obumenyi obw’amateeka okuddamu okweyongera okwetoloola eggwanga ku makubo.

Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu gwanga Fred Ennaga, kino era kyesigamiziddwa ku bikorwa eby’obumenyi obw’amateeka omuli n’obunyanzi obubadde buzzeemu ku makubo.

Gyebuvuddeko President yalagira emisanvu gyonna giveeko nga alumiriza abasirikale okuva ku mulamwa nebatandika okusolooza ku bantu ensimbi.

Kati Enanga asinzidde mu lutuula lwa buli sabiiti olw’abannamawulire e Naguru nategeeza nga kino bwekigenda okutekebwamu amaanyi naddala mu biseera eby’egandqaalo ly’ennaku enkulu.